1 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni y’ajja okubeera nnabbi wo. 2 Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye. 3 Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri, 4 tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna. 5 Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”
10 Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota. 11 Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama. 12 Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 13 Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.
19 Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”
20 Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.
22 Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; 23 n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.
25 Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.
<- Okuva 6Okuva 8 ->- a Kiyira Falaawo yagendanga okusinza lubaale w’Omugga Kiyira (kitaawe wa balubaale). Noolwekyo okukwata ku Kiyira, kyali nga kukwata mu liiso lya Misiri lyennyini.