4 Bw’atyo Musa n’atema mu mayinja ebipande bibiri nga bifaanana nga biri ebyasooka; n’akeera mu makya n’alinnya ku lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira, ng’asitudde n’ebipande eby’amayinja byombi mu mikono gye. 5 Awo Mukama n’akkira mu kire, n’ayimirira awo ne Musa, n’alangirira erinnya lye, Mukama. 6 Mukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo. 7 Akuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.”
8 Amangwago Musa n’avuunama wansi, n’asinza. 9 N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”
10 Awo Mukama n’addamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna b’oli nabo banaalaba eby’ekitalo Mukama by’anaakolera mu ggwe.
15 “Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. 16 Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.
17 “Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.
19 “Ebiggulanda byonna byange, n’ennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga. 20 Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.
21 “Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu n’owummula; ne mu biseera eby’okukabala n’ebyokukungula onoowummulanga.
22 “Onookwatanga Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Amakungula g’Ebibala Ebibereberye eby’Eŋŋaano, n’Embaga ey’Okuyingiza Amakungula ku nkomerero y’omwaka. 23 Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka. 24 Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.
25 “Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.
26 “Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.
27 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 28 Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.
33 Awo Musa bwe yamala okwogera nabo, n’abikka obwenyi bwe olugoye. 34 Naye Musa bwe yabanga agenda awali Mukama okwogera naye, ng’olugoye olubikka obwenyi bwe alwebikkula okutuusa lwe yavangayo. Bwe yakomangawo okutegeeza abaana ba Isirayiri Mukama by’amulagidde, 35 baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bw’atyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri Mukama okwogera naye.
<- Okuva 33Okuva 35 ->