3 Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. 4 Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!
7 Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. 8 Yambalanga engoye ennyonjo*Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu., era weesiigenga n’ebyakaloosa. 9 Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.
11 Ate nalaba nga wansi w’enjuba,
12 Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.
13 Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14 waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 15 Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 16 Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.
- a Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu.