11
Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo
1 Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,
kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2 Gabiranga musanvu weewaawo munaana,
kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3 Ebire bwe bijjula amazzi,
bitonnyesa enkuba ku nsi;
n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,
mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4 Oyo alabirira embuyaga talisiga;
n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5 Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
Omutonzi wa byonna by’akola.
6 Ku makya siga ensigo zo,
n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;
kubanga tomanyi eziryala,
zino oba ziri,
oba zombi ziriba nnungi.
7 Ekitangaala kirungi,
era okulaba ku musana kisanyusa.
8 Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,
agisanyukirengamu gyonna,
naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza
nnyingi ezijja.
Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9 Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
Katonda agenda kukusalira omusango.
10 Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
era weggyeko emitawaana mu ggwe,