1 Abantu babiri bwe banaabanga n’enkaayana, ensonga zaabwe ne bazitwala mu mbuga z’amateeka, abalamuzi ne babasalirawo, banaalangiriranga asinze n’oyo gwe gusinze. 2 Singa oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi n’akubirwa mu maaso ge omuwendo gw’obuga obuggya mu musango gw’anaabanga azzizza, 3 naye nga tebusukka buga amakumi ana. Bwe bunaasukkanga omuwendo ogwo munnammwe anaabanga aswazibbwa nnyo mu maaso gammwe.
4 Ente[a] temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.
13 Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14 Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. 16 Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.
17 Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. 18 Bwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. 19 Bw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.
<- Ekyamateeka Olwokubiri 24Ekyamateeka Olwokubiri 26 ->- a Ente ezo zaakozesebwanga okuwuula emmere ey’empeke. Ente yasibibwanga ku lubengo olunene, ebigere byayo ne birinnyirira empeke, nga biggya ebikuta ku mpeke, ate olubengo nga bwe lussa empeke okuzifuulamu obuwunga.