7 Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. 8 Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. 9 Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. 10 Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. 11 Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
Okuwa Eddembe Abaddu Abagule
12 Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye. 13 Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa. 14 Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. 15 Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.
16 Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; 17 kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga[b] mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.
18 Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.
Ebibereberye eby’Ebisolo Ebirundibwa
19 Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. 20 Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. 21 Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo. 22 Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza. 23 Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.
<- Ekyamateeka Olwokubiri 14Ekyamateeka Olwokubiri 16 ->