3 Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro? 4 Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
5 Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi. 6 Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7 Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo. 8 Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.”
9 Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
10 Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. 11 Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.
21 Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.
25 Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.” 26 Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja. 27 Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza 28 ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
29 Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu. 30 Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti. 31 Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi. 32 Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
33 Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta. 34 Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru. 35 N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako. 36 Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo. 37 Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako. 38 Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma. 39 Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
40 Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.
41 Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya. 42 Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.
<- Ebikolwa by’Abatume 4Ebikolwa by’Abatume 6 ->