13 Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14 Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 15 Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 16 Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
17 Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. 18 Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, 19 nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. 20 Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, 21 nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
22 “Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. 23 Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. 24 Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.
25 “Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. 26 Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, 27 kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. 28 Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. 29 Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. 30 Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. 31 Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.
32 “Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. 33 Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. 34 Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. 35 Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
36 Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 37 Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 38 nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.
<- Ebikolwa by’Abatume 19Ebikolwa by’Abatume 21 ->