3 Kabaka n’amubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”
4 Awo kabaka n’agamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba n’ayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”
9 Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya[a] n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.” 10 Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”
11 Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde. 12 Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange n’ansasula obulungi olw’okukolima okwo.”
13 Awo Dawudi n’abasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi n’ayitira ku lusozi okumwolekera nga bw’akolima, nga bw’amukasuukirira amayinja n’enfuufu. 14 Kabaka n’abantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye. N’aweereraweerera eyo.
18 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gw’anaalonda, n’abantu bano, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abanga wuwe era n’abeeranga naye. 19 Era nate n’aweereza ani okuggyako mutabani we? Nga bwe naweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga.” 20 Abusaalomu n’agamba Akisoferi nti, “Tuwe ku magezi. Tunaakola tutya?”
21 Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.” 22 Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.
23 Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.
<- 2 Samwiri 152 Samwiri 17 ->- a Zeruyiya yali mwannyina Dawudi, noolwekyo Abisaayi yali mutabani wa Dawudi