2 Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, n’aweerezanga mukazi wa Naamani. 3 Omuwala n’agamba mugole we nti, “Singa mukama wange Naamani agenda n’alaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge bye.”
4 Awo Naamani n’agenda n’ategeeza mukama we ebigambo by’omuwala eyava mu Isirayiri. 5 Kabaka wa Busuuli n’amuddamu nti, “Genda kaakano, era ogende n’ebbaluwa gye nnaawandiikira kabaka wa Isirayiri[b].” Awo Naamani n’asitula, n’atwala kilo bisatu mu ana eza ffeeza, ne kilo nsanvu eza zaabu, n’ebika by’engoye eby’enjawulo kkumi. 6 Era n’atwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ng’egamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno n’omuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.” 7 Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bw’ansosonkerezaako oluyombo?” 8 Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amutumira ng’agamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.”
9 Awo Naamani n’asitula n’embalaasi ze n’amagaali ge n’ayimirira ku luggi lw’ennyumba ya Erisa. 10 Erisa n’atuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.”
11 Naye Naamani n’anyiiga, n’agenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo n’ajja, n’ayimirira n’akoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, n’awuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, n’amponya. 12 Abana ne Faafa, emigga gy’e Damasiko tegisinga amazzi gonna ag’omu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” N’akyuka n’agenda ng’ajjudde obusungu bungi.
13 Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ” 14 N’aserengeta n’agenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ng’omusajja wa Katonda bwe yamulagira, n’aba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ng’ogw’omwana omuto.
21 Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?” 22 N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’ ”
23 Naamani n’amugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” N’awaliriza Gekazi, n’amusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri, Naamani n’abitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi. 24 Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, n’abibaggyako, n’abiteeka mu nnyumba ye, n’abasindika bagende. 25 N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.” 26 Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala? 27 Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.
<- 2 Bassekabaka 42 Bassekabaka 6 ->