Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
4
Nnamwandu n’Akasumbi ak’Amafuta
1 Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.” 2 Erisa n’amuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” N’amugamba nti, “Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta*Mu bitundu ebyo, amafuta ag’omuzeeyituuni gaali geetagibwa mu kufumba buli mmere. Ate era gaayambanga okukuuma omubiri gwonna nga mulamu bulungi. otutono ennyo.” 3 Erisa n’amugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. 4 Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ng’ekijjula ky’ossa wa bbali.”

5 Bwe yava waali n’addayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye n’abaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bw’attulula. 6 Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.”

Awo amafuta ne gakoma.

7 Amangwago nnamwandu n’addayo ew’omusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”

Mutabani w’Omusunammu Azuukizibwa
8 Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere. 9 Omukazi n’agamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano. 10 Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda n’emmeeza, n’entebe, n’ettabaaza by’anaakozesanga ng’azze okutukyalira.”

11 Lumu, Erisa n’akyalayo, n’agenda mu kisenge kye, n’awummulirako eyo. 12 N’agamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge. 13 Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’ ”

N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”

14 Erisa n’abuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi n’addamu nti, “Laba talina mwana, ate ng’akaddiye.” 15 Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango. 16 Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.”

Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”

17 Naye oluvannyuma omukazi n’aba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, n’azaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.

18 Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi. 19 N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!”

Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”

20 Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa. 21 Nnyina n’asitula omulambo gwe, n’agutwala waggulu n’aguteeka ku kitanda eky’omusajja wa Katonda, n’afuluma, n’aggalawo oluggi.

22 N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”

23 N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.” 24 Ne yeebagala endogoyi, n’agamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.” 25 Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi KalumeeriOlusozi Kalumeeri lwali nga kilomita amakumi asatu okuva e Sunamu.. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli! 26 Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’ ”

Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”

27 Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.” 28 Omukazi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?” 29 Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.” 30 Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera. 31 Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”

32 Awo Erisa n’atuuka ku nnyumba, n’agenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gw’omwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye. 33 N’ayingira ekisenge, ne yeggalirayo, n’atandika okusaba Mukama. 34 N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira. 35 Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.

36 Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.” 37 Omukazi n’ayingira, n’avuunama ku bigere bya Erisa, n’asitula omwana we n’afuluma.

Erisa n’Enva Ezirimu Obutwa
38 Oluvannyuma, Erisa ng’azeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. N’agamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.” 39 Omu ku bo n’alaga mu nnimiro n’anoga amaboga, n’alaba n’omuzabbibu ogw’omu nsikoEkimera ekyo kyefaananyiriza omuboga era ekibala kyakyo kyenkana omucungwa mu bunene. Ekibala ekyo kikaayirira nnyo., n’anoga ku bibala byagwo ebiwera, n’assa mu lugoye lwe. N’addayo n’abisalirasalira mu ntamu ey’enva. Teyamanya nga bye yanoga birimu akabi. 40 Buli muntu ne bamusenera ku nva; naye bwe baaziryako, ne bayogerera waggulu nti, “Omusajja wa Katonda mu ntamu mulimu okufa.” Ne batazirya.

41 Erisa n’agamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera n’abuteeka mu ntamu y’enva, n’abagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu y’enva.

Erisa Agabula Abantu Ekikumi
42 Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, n’aleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi n’ebiri nga mmere ey’okubibala ebibereberye, ate era n’amuleetera n’ebirimba eby’eŋŋaano embisi. Erisa n’agamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.”

43 Omuweereza we n’amuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?” 44 Naye Erisa n’amuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’ ” N’abibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

<- 2 Bassekabaka 32 Bassekabaka 5 ->