5 Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala[b], ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu[c] mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.
6 Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 7 Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
10 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka. 11 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 12 Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”
13 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya. 14 Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye. 15 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 16 Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
19 Awo Puli§Puli lye linnya lya kabaka w’e Bwasuli era lye yayitibwanga mu Babulooni. Ate era yayitibwanga Tigulasupireseri III; yafugira wakati wa 745 ne 727 bc (Laba 1By 5:26) kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka. 20 Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.
21 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 22 Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
29 Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli. 30 Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
36 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 37 Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya. 38 Yosamu n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
<- 2 Bassekabaka 142 Bassekabaka 16 ->- a Ebyo byabaawo mu mwaka 767 bc.
- b Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46)
- c Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu.
- d Puli lye linnya lya kabaka w’e Bwasuli era lye yayitibwanga mu Babulooni. Ate era yayitibwanga Tigulasupireseri III; yafugira wakati wa 745 ne 727 bc (Laba 1By 5:26)