6 N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti, 7 “Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe. 8 Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.
9 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti,
16 Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya. 17 Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.” 18 Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga. 19 Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu.
20 Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. 21 Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.
22 Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna. 23 Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
27 Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo. 28 N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga. 29 Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini.
30 Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga. 31 Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 33 Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.
<- 2 Ebyomumirembe 312 Ebyomumirembe 33 ->