11 Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza Mukama Katonda, ng’alabirirwa Eri.
16 Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
17 Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
18 Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. 19 Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 20 Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka. 21 Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.
22 Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 23 N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi. 24 Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi n’akatono. 25 Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda[b] ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubazikiriza.
26 Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.
30 “Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 31 Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, 32 olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. 33 Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’
34 “ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. 35 Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. 36 Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”
<- 1 Samwiri 11 Samwiri 3 ->