5 Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. 6 Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. 7 Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.
11 Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, 12 ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”
13 Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. 14 Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.” 15 Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.
19 Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” 20 Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. 21 Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda.
22 Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani[a]. 23 Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi.
<- 1 Samwiri 121 Samwiri 14 ->- a Abayisirayiri baalwanyisanga mitego na busaale