15 Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. 16 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. 17 Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, 18 Baalasi ne Tamali mu ddungu, 19 n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.
20 Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, 21 Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. 22 Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. 23 Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.
24 Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.
25 Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu*Emirundi esatu mu mwaka, z’embaga ssatu enkulu: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, n’Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Ensiisira (Kuv 23:14-17; Ma 16:16; 2By 8:13) mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.
26 Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba†Eziyonigeba Sulemaani bwe yawamba omwalo gw’omu Eziyonigeba, ekyali mu Edomu, kyamusobozesa okusuubuliranga ku Nnyanja Emyufu ne ku Guyanja ogunene ogwa Buyindi okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. 27 Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. 28 Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri‡Ofiri Bangi bagamba Ofiri kyali kibuga ku myalo gya Buwalabu oba ku mwalo gwa Somaliya, oba Buyindi oba Zimbabwe. Tekimanyiddwa bulungi., ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.
<- 1 Bassekabaka 81 Bassekabaka 10 ->- a Emirundi esatu mu mwaka, z’embaga ssatu enkulu: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, n’Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Ensiisira (Kuv 23:14-17; Ma 16:16; 2By 8:13)
- b Eziyonigeba Sulemaani bwe yawamba omwalo gw’omu Eziyonigeba, ekyali mu Edomu, kyamusobozesa okusuubuliranga ku Nnyanja Emyufu ne ku Guyanja ogunene ogwa Buyindi
- c Ofiri Bangi bagamba Ofiri kyali kibuga ku myalo gya Buwalabu oba ku mwalo gwa Somaliya, oba Buyindi oba Zimbabwe. Tekimanyiddwa bulungi.