1 Awo Sulemaani n’ayita abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika bonna, n’abaami b’ennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi. 2 Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu*Esanimu Omwezi gwa Esanimu ly’ebbanga wakati wa Sebutemba ne Okitobba. gwe mwezi ogw’omusanvu.
3 Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, bakabona ne basitula essanduuko, 4 ne bagireeta, ne baleeterako n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebintu byonna ebitukuvu ebyalimu. 5 Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.
6 Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. 7 Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluze ku kifo essanduuko we yateekebwa, ne bibikka ku ssanduuko ne ku misituliro gyayo. 8 Emisituliro gino gyali miwanvu nnyo nga n’okulabika girabikira mu kifo ekitukuvu mu maaso g’ekisenge ekitukuvu ennyo, naye nga tegirabika okuva ebweru; era gikyaliyo ne leero. 9 Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.
10 Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, 11 bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.
12 Awo Sulemaani n’agamba nti, “Mukama yayogera nti anaabeeranga mu kire ekikutte. 13 Nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”
“Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri, atuukirizza n’omukono gwe bye yasuubiza Dawudi kitange ne bye yayogerera mu ye. 16 Yayogera nti, ‘Okuva ku lunaku lwe naggyirako abantu bange Isirayiri mu Misiri, seerobozanga kibuga na kimu mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimbamu yeekaalu, naye neeroboza Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’
17 “Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama, Katonda wa Isirayiri yeekaalu. 18 Naye Mukama n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange eyeekaalu, walowooza bulungi. 19 Naye si ggwe olinzimbira yeekaalu, mutabani wo alikuzaalirwa, ow’omusaayi gwo yennyini, y’alizimbira erinnya lyange eyeekaalu.’
20 “Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, n’okutuula ne ntuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 21 Ntaddewo ekifo ky’essanduuko, omuli endagaano ya Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, ng’abaggya mu nsi y’e Misiri.”
Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwaayo Yeekaalu eri Mukama
22 Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, n’ayanjuluza emikono gye eri eggulu, 23 n’ayogera nti,
“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo ey’okwagala n’okuuma n’abaddu bo abatambulira mu maaso go n’emitima gyabwe gyonna. 24 Okuumye ekisuubizo kyo eri omuddu wo Dawudi kitange; wasuubiza n’akamwa ko era okituukirizza n’omukono gwo, nga bwe kiri leero.
25 “Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bw’okoze, wanaabangawo ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’ 26 Era kaakano, Ayi Katonda wa Isirayiri, ekigambo kyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, okituukirize.
27 “Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu ly’eggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu. 28 Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba n’okusaba omuddu wo kw’asaba mu maaso go leero. 29 Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino. 30 Owulire okwegayirira kw’omuddu wo, n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gy’obeera, era bw’otuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.
31 “Omuntu bw’anaasobyanga muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, n’ajja n’alayirira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 32 owulire okuva mu ggulu, era omukole nga bw’olaba. Osale omusango wakati wa baddu bo, era obonereze oyo omusango gwe gusinze nga bwe kimusaanidde. Olangirire nti atasobezza taliiko musango, ekyo kinaakakasa nti taliiko musango.
33 “Abantu bo Isirayiri bwe banaawaangulibwanga omulabe olw’ebibi byabwe, ne bakyuka ne badda gy’oli, ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne bakwegayirira mu yeekaalu muno, 34 kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era osonyiwenga abantu bo Isirayiri olw’ebibi byabwe, era obakomyengawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
35 “Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olw’ebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olw’okubabonereza, 36 kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu ery’okutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ng’omugabo gwabwe.
37 “Bwe wanaabangawo enjala mu nsi, oba kawumpuli, oba okugengewala oba bukuku, oba enzige, oba omulabe ng’abazingizza mu bibuga byabwe, endwadde yonna ne bweneefaanananga etya, 38 omuntu yenna ku bantu bo bw’anaasabiranga ekintu kyonna, buli omu n’amanya endwadde ey’omu mutima gwe, era n’ayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera. 39 Osonyiwenga era okolenga buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gy’abantu bonna, 40 balyoke bakutyenga ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
41 “Ebikwata ku munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isirayiri, naye ng’avudde mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo, 42 kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno; 43 owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.
44 “Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe gy’onoobasindikanga ne basaba Mukama nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo, 45 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oli mu ggulu, otegeere ensonga zaabwe.
46 “Bwe banaayonoonanga mu maaso go, kubanga tewali muntu atasobyanga, n’obasunguwalira n’obagabula eri omulabe, ne batwalibwa mu nsi eyeewala oba eyokumpi; 47 era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi y’abo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’ 48 bwe banaakukyukiranga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’abalabe baabwe abaabawamba, ne bakusaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo; 49 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oli mu ggulu ekifo gy’obeera, era otegeerenga ensonga yaabwe. 50 Osonyiwenga abantu bo abakusobezza, era obasonyiwenga ebibi byabwe byonna, era abo abaabawangula babakwatirwe ekisa, 51 kubanga bantu bo era gwe mugabo gwo, be waggya mu Misiri, mu kyoto ekisaanuusa ekyuma.
52 “Ontunuulize amaaso ag’ekisa olabe okwegayirira kw’abantu bo Isirayiri, era obawulirenga buli lwe banaakukaabiriranga. 53 Ayi Mukama Ayinzabyonna gwe walonda abantu bo mu mawanga gonna ag’omu nsi okuba ababo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”
54 Awo Sulemaani bwe yamala okusaba n’okwegayiririra abantu eri Mukama, n’asituka okuva we yali afukamidde ng’emikono gye ajanjuluza eri eggulu, mu maaso g’ekyoto kya Mukama. 55 N’ayimirira n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,
56 “Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isirayiri okuwummula nga bwe yasuubiza. Tewali kigambo na kimu ekitatuukiridde ku ebyo ebirungi bye yasuubiza omuddu we Musa. 57Mukama Katonda waffe abeere wamu naffe nga bwe yali ne bajjajjaffe, era aleme okutuleka wadde okutwabulira. 58 Akyuse emitima gyaffe tudde gyali, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okukwatanga ebiragiro bye, n’amateeka ge, n’ebigambo bye n’emisango gye bye yawa bajjajjaffe. 59 N’ebigambo byange bino bye nsabye mu maaso ga Mukama, bibeerenga kumpi ne Mukama Katonda waffe emisana n’ekiro, alyoke awanirire ensonga y’abantu be Isirayiri, ng’ebyetaago ebya buli lunaku, 60 abantu bonna ab’oku nsi bategeere nga Mukama ye Katonda era tewali mulala. 61 Naye emitima gyammwe giteekwa okunywerera ku Mukama Katonda waffe, nga mutambulira mu mateeka ge, n’okugondera ebiragiro bye, nga bwe mukola leero.”
Okuwonga kwa Yeekaalu
62 Awo Kabaka ne Isirayiri yonna ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. 63 Sulemaani yawaayo ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, era bino bye yawaayo: ente emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Bwe batyo Kabaka n’Abayisirayiri bonna ne bawonga yeekaalu ya Mukama.
64 Ku lunaku olwo Kabaka kwe yatukuliza oluggya olwa wakati mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe, kubanga ekyoto eky’ekikomo mu maaso ga Mukama kyali kitono nnyo okugyaako ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe.
65 Sulemaani ne Isirayiri yonna wamu naye, ne batuukiriza embaga eyo mu biro ebyo, ekibiina ekinene ddala mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga beegatiddwako abantu abaava ku mulyango gwa Kamasi n’abaava ku mukutu gw’e Misiri, okumala ennaku kkumi na nnya. 66 Ku lunaku olwaddirira abantu ne basabira Kabaka omukisa, n’abasiibula ne baddayo ewaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mutima olw’ebirungi byonna Mukama bye yali akoledde Dawudi omuddu we n’abantu be Isirayiri.