11 Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;
12 Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;
13 Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;
14 Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;
15 Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,
16 Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;
17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;
18 Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;
19 Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.
20 Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 21 Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe[b].
22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa[c] okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola. 25 Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.
27 Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28 Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.
Amagezi ga Sulemaani
29 Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba[d], ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 31 Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.
<- 1 Bassekabaka 31 Bassekabaka 5 ->
aAzaliya yali mutabani wa Akimaazi, ate Akimaazi nga mutabani wa Zadooki (2Sa 15:27, 36 ne 1By 6:8-10). Noolwekyo Azaliya muzzukulu wa Zadooki. Mu kiseera ekyo Akimaazi yali amaze okufa. Azaliya ye yali Kabona Asinga Obukulu mu biro bya Sulemaani
bEnsalo z’obwakabaka bwa Sulemaani zaakoma yonna Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu (Lub 15:18-21; Ma 1:7; 11:24; Yos 1:4).
cTifusa kyali kibuga kikulu nga kisangibwa ku lubalama lw’Omugga Fulaati, nga kiri ku nsalo ey’omu bukiikakkono bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. Gaaza ne Bufirisuuti okumpi n’ennyanja ya Meditereniyaani ye yali ensalo ey’omu bukiikaddyo bw’obuvanjuba obw’obwakabaka.
dEkitundu eky’Obuvanjuba kitegeeza amawanga g’Abawalabu abaabeeranga mu buvanjuba bwa Bufirisuuti