1 Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, 2 nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. 3 Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. 4 Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. 5 N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. 6 Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7 Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi[a] akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. 8 Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. 9Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 10 Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 11Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12 Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 13 Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”
Abalabe ba Sulemaani
14 Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu. 15 Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu. 16 Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu. 17 Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe. 18 Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.
19 Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa. 20 Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.
21 Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”