4 Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi. 5 Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu b’ensi kyebava babawuliriza. 6 Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.
7 Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. 8 Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. 9 Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. 10 Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe. 11 Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. 12 Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe. 13 Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde. 14 Era ffe twamulaba n’amaaso gaffe, kyetuva tutegeeza nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.
15 Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda. 16 Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli.
19 Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala. 20 Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako. 21 Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”
<- 1 Yokaana 31 Yokaana 5 ->