3
Ennyumba ya Dawudi
1 Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni:
Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri;
owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
2 owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli;
n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
3 Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali
n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
4 Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu, 5 era bano be baana be yazaalira eyo:
Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
6 N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti, 7 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
9 Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
Olulyo lwa Sulemaani
10 Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,
ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu,
ne Asa nga ye mutabani wa Abiya,
ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
11 ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati,
ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu,
ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
12 Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,
ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,
ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
13 Akazi yali mutabani wa Yosamu,
ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,
ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
14 Amoni yali mutabani wa Manase,
ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
15 Batabani ba Yosiya baali
Yokanaani omuggulanda,
ne Yekoyakimu ye yali owookubiri,
ne Zeddekiya nga wa wakusatu,
ne Sallumu nga wakuna.
16 Batabani ba Yekoyakimu baali
Yekoniya
ne Zeddekiya.
Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse
17 Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba:
Seyalutyeri mutabani we, 18 ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
19 Batabani ba Pedaya baali
Zerubbaberi ne Simeeyi.
Batabani ba Zerubbaberi baali
Mesullamu ne Kananiya,
ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe. 20 N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
21 Batabani ba Kananiya baali
Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
22 Ab’olulyo lwa Sekaniya baali
Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
23 Batabani ba Neyaliya baali
Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
24 Batabani ba Eriwenayi baali
Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.
<- 1 Ebyomumirembe 21 Ebyomumirembe 4 ->