14 “Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. 15 Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi. 16 Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo. 17 Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu. 18 Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe. 19 Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
Sulemaani Atikkirwa Okuba Kabaka
21 Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna. 22 Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.
Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona. 23 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera. 24 Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.
25Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
Okufa kwa Dawudi
26 Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. 27 Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi. 28 N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.
29 Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi, 30 era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.