1 Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. 2 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, 3 era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
4 Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. 5 Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. 6 Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza
7 Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:
8 Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe,
n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12 Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 Ye Mukama Katonda waffe;
okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.
15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 gye yakola ne Ibulayimu,
era n’agirayiza Isaaka.
17 N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
19 Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”
37 Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38 Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.
39 Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40 okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 41 Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42 Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.
43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.